Isaiah 56:6-7

6 aN’abo bannaggwanga abasalawo okwegatta ku Mukama,
okumuweereza era n’okwagala erinnya lya Mukama
era n’okubeera abaweereza be,
abakwata ssabbiiti
ne batagyonoona
era ne banyweza endagaano yange,
7 bbano ndibaleeta ku lusozi lwange olutukuvu
era ne mbawa essanyu mu nnyumba yange ey’okusabiramu.
Ebiweebwayo byabwe ebyokebwa ne ssaddaaka zaabwe
birikkirizibwa ku kyoto kyange.
Kubanga ennyumba yange eriyitibwa nnyumba ya kusabiramu
eri amawanga gonna.”
Copyright information for LugEEEE